okusinza 24

Okusinza Mu Luganda

Anthem

The OmL Anthem is a lasting credit to the organisation, the music is outstanding and was composed by Sam Kimuli (BMus, FRCO, PGCE), an accomplished and experienced organist and pianist, accompanist and keyboard player. 

An excellent musician, Sam is  a composer, musical director, producer, educator and arranger.  The inspiring words were written by a long standing choir member Christine Nakitende. Using her artistic skills she wrote words that tell the OmL journey from beginning to today.

OKUSINZA MU LUGANDA ANTHEM

 Tujaguze ssanyu leero twebaza
Tusanyuke giweze emyaka asatu
Bukya ekkanisa eno ebeerawo
Tusaanye nnyo ffe okumwebaza
Olw'abakristaayo b'okusinza wano mu luganda
N'olwebirungi byetufunye Yesu yeebale.

Baategana,baafuba era baateesa
Ffe tufune Okusinza mu Luganda
Tusiima nnyo abaatusookawo
Baateekawo ekitaasuubirwa
Ekkanisa eno etugatta ffe banna Uganda
Tuvuddemu ekkanisa endala nnyingi twebaza.

Twategeka, tusaba tujjukira
Omwaka, amaka, abakyala n'abaami
Amazuukira, n'abavubuka, Amakungula n'aMazaalibwa
Ne Uganda eyo ensi yattu era ne Buganda
Bajulizi baffe awamu n'abo abeebaka

Ffe twenenye twebaze era tusabe
Yesu afuge atuwe emirembe gye
Tuli balonde ffe abaana be
Tuli wamu era tumwesiga
Twalinga abatambuze abaava mu mawanga
Tuliddayo ffe abawanguzi ewaffe munsi eyo .

 

Music composed by Sam Kimuli FRCO/ Words by Christine Nakitende 2021

Image

Upcoming events

Projects

Sponsored By

lottery fund

Connect with us